Psalms 139

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

1 aAyi Mukama, okebedde omutima gwange,
n’otegeera byonna ebiri munda yange.
2 bBwe ntuula omanya, ne bwe ngolokoka omanya;
era otegeera byonna bye ndowooza, ne bwe mbeera ewala ennyo.
3 cOtegeera okutambula kwange kwonna n’okuwummula kwange.
Omanyi amakubo gange gonna.
4 dEkigambo kye nnaayogera, Ayi Mukama,
okimanya nga sinnaba na kukyogera.
5 eOndi mu maaso n’emabega,
era ontaddeko omukono gwo.
6 fOkumanya okw’engeri eyo kunsukkiridde,
era nkwewuunya nnyo, kunnema okutegeera.

7 gNnaagenda wa Omwoyo wo gy’atali?
Oba nnaagenda wa ggwe gy’otoli?
8 hBwe nnaalinya mu ggulu, nga gy’oli;
bwe nnakka emagombe, nayo nga gy’oli.
9Bwe nneebagala empewo ez’oku makya ne zintwala
ne mbeera mu bitundu by’ennyanja ebisinga okuba ewala;
10 iera n’eyo omukono gwo gunannuŋŋamya,
omukono gwo ogwa ddyo gunannywezanga.
11Bwe nnaagamba nti, “Ekizikiza kimbuutikire,
n’obudde obw’emisana bwe ndimu bufuuke ekiro.”
12 jNaye era ekizikiza gy’oli tekiba kizikiza,
ekiro kyakaayakana ng’emisana;
kubanga gy’oli ekizikiza n’omusana bifaanana.

13 kGgwe watonda byonna ebiri munda mu nze;
ggwe wammumbira mu lubuto lwa mmange.
14 lNkutendereza, kubanga wankola mu ngeri ey’entiisa era ey’ekitalo;
emirimu gyo gya kyewuunyo;
era ekyo nkimanyidde ddala bulungi.
15 mWammanya nga ntondebwa,
bwe nakolerwa mu kyama;
bwe natondebwa mu buziba bw’ensi n’amagezi go amangi.
16Wandaba nga si natondebwa.
Ennaku zange zonna ze wanteekerateekera
zawandiikibwa mu kitabo kyo.
17 nBy’ondowooleza nga bya muwendo munene, Ayi Katonda!
Omuwendo gwabyo munene!
18Singa ngezaako okubibala
bisinga omusenyu obungi.
Ne bwe ngolokoka mu makya
oba okyandowoozaako.

19 oAbakola ebibi batte, Ayi Katonda;
abasajja abassi b’abantu banveeko.
20 pAbantu abo bakwogerako bibi;
bakwegulumiririzaako mu butategeera bwabwe.
21 qAbakukyawa, Ayi Mukama, nange mbakyawa;
abo abakwegulumiririzaako bansunguwaza.
22Mbakyayira ddala nnyo,
era mbayita balabe bange.
23 rNkebera, Ayi Katonda, otegeere omutima gwange.
Ngezesa omanye ebirowoozo byange.
24 sOlabe obanga mu nze mulimu engeri yonna enkyamu;
era onkulembere mu kkubo erintuusa mu bulamu obutaggwaawo.
Copyright information for LugEEEE